Psalms 15

Zabbuli ya Dawudi.

1 aAyi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

2 bOyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 cOlulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 dAnyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5 eBw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE